Judges 14:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Mu mulyi, mwavaamu ekyokulya; Mu wa maanyi, mwavaamu ekiwoomerera.” Ne batasobola kukitta mu nnaku ssatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Mu muli mwavaamu ekyokulya Mu w’amaanyi mwavaamu ekiwoomerera.” Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvvuunula ekikokko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Mu mmuli mwavaamu emmere, Ne mu w'amaanyi mwavaamu obuwoomerevu.” Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvvuunula ekikokko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mu mulyi mwavaamu ekyokulya. Mu w'amaanyi mwavaamu ekiwoomerevu!” Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvuunula ekikokko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mu mulyi mwavaamu emmere, Ne mu w'amaanyi mwavaamu obuwoomerevu. Ennaku ssatu ne ziyitawo ne balemwa okuvvuunula ekikokko.