Judges 14:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwokuna ne bagamba muka Samusoni nti: “Musendesende akubuulire amakulu g'ekikoco, oba si ekyo tujja kukwokya wamu n'ennyumba ya kitaawo. Mwatuyise ku mbaga kutwaya bwaya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko. Bwe kitaabe bwe kityo tujja kukwokya omuliro ggwe n’ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutunyaga, si bwe kiri?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko, tuleme okukwokya omuliro ggwe n'ennyumba ya kitaawo, mwatuyita kutwavuwaza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokuna, ne bagamba muka Samusooni nti: “Sendasenda balo atuvvuunule ekikokko. Bw'otookikole, tujja kukwokya ggwe, n'ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutwavuwaza?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne bagamba mukazi wa Samusooni nti Sendasenda balo atuvvuunule ekikokko, tuleme okukwokya omuliro ggwe n'ennyumba ya kitaawo: mwatuyita okutwavuwaza? si bwe kiri?