Judges 14:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muka Samusoni n'amukaabirira nga bw'agamba nti: “Onkyaye, tonjagala; kale wawadde abantu bange ekikoco, naye nze ogaanye okukimbuulira.” Ye n'ayanukula nti: “Kitange ne mmange we sibabuuliridde, ggwe gwe nnaakibuulira?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukazi wa Samusooni n’agenda gy’ali ng’akaaba amaziga, ng’agamba nti, “Ddala ddala onkyawa so tonjagala. Wakokkolera abasajja b’omu bantu bange ekikokko, naye n’otakivvuunula.” N’amuddamu nti, “Laba sinnakivuunulira kitange newaakubadde mmange, noolwekyo lwaki nkikuvuunulira?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukazi wa Samusooni n'akaabira amaziga mu maaso ga Samusooni, n'amugamba nti, “Tonjagala onkyawa bukyayi, wakokkolera ekikokko abantu bange, naye nze n'otokimbuulirako.” N'amugamba nti, “Laba, sikibuuliranga kitange newakubadde mmange, ggwe nnaandikibuuliddeko?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muka Samusooni n'agenda gy'ali ng'akaaba amaziga, n'agamba nti: “Tonjagala, onkyawa bukyayi! Wakokkera ab'eggwanga lyange ekikokko, n'otombuulira kye kitegeeza!” N'amugamba nti: “Saabuulira kitange wadde mmange, ggwe nnaabuulira?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukazi wa Samusooni n'akaaba amaziga mu maaso ge n'agamba nti Onkyawa bukyayi, so tonjagala: wakokkolera ekikokko abaana b'abantu bange n'otokimbuulirako nze. N'amugamba nti Laba, sikibuuliranga kitange newakubadde mmange, ggwe nnaakibuulirako?