Judges 14:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zonna omusanvu ez'embaga n'azimala ng'akaaba. Kyaddaaki, ku lunaku olwomusanvu n'amubuulira, kubanga yali amwetayiridde. Amangu ago omukazi n'abuulira abantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amukaabirira okumala ebbanga eryo lyonna ery’embaga, olwo n’alyoka akimuvuunulira, kubanga yamwetayirira nnyo. N’oluvannyuma omukazi n’annyonnyola abasajja b’omu bantu be ekikokko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akaabiranga mu maaso ge, okutuusa ennaku omusanvu (7) ez'embaga lwe zaggwaako; ku lunaku olw'omusanvu (7) n'amubuulira olw'okumwetayirira nnyo. Awo omukazi n'alyoka agenda n'abuulira abantu be amakulu g'ekikokko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'akaabanga olw'ekyo buli lunaku, okumalako ennaku omusanvu ez'embaga. Ku lunaku olw'omusanvu n'amubuulira, kubanga yamwetayirira nnyo. Omukazi n'abuulira ab'eggwanga lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akaabira amaziga mu maaso ge ennaku musanvu embaga ng'ekyaliwo: awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu n'amubuulira kubanga yamutayirira nnyo: n'abuulira abaana b'abantu be ekikokko kye yakokkola.