Judges 14:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwomusanvu, enjuba nga tennagwa abantu b'omu kibuga, ne bamugamba nti: “Kiki ekisinga omubisi gw'enjuki okuwoomerera? Ate kiki ekisinga empologoma amaanyi?” N'abagamba nti: “Singa temwalimisizza nnyana yange, temwandisse kikoco kyange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olw’omusanvu enjuba nga tennagwa abasajja ab’omu kibuga ne bagamba Samusooni nti, “Kiki ekisinga omubisi gw’enjuki okuwoomerera? Kiki ekisinga empologoma amaanyi?” N’abaddamu nti, “Singa temwalimya nnyana yange, temwandivuunudde kikokko kyange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunnaku olw'omusanvu, enjuba nga tennagwa, abasajja ab'omukibuga ne bagamba Samusooni nti, “Kiki ekisinga omubisi gw'enjuki obuwoomerevu? Era kiki ekisinga empologoma amaanyi?” N'agamba nti, “Singa temwalimisa nte yange, Temwandivvuunudde kikokko kyange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omusanvu, abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Samusooni enjuba nga tennagwa nti: “Ekisinga omubisi gw'enjuki obuwoomerevu kiki? N'empologoma kiki ekigisinga amaanyi?” Samusooni n'addamu nti: “Singa temwalimya nte yange n'ekikokko kyange temwandikivumbudde!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'omu kibuga ne bamugamba ku lunaku olw'omusanvu enjuba nga tennagwa nti Ekisinga omnbisi gw'enjuki obuwoomerevu kiki? era ekisinga empologoma amaanyi kiki? N'agamba nti Singa temwalimya nte yange, Temwandivvuunudde kikokko kyange.