Judges 14:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'Omukama ne gumujjako, n'aseerengeta e Asukeloni, n'attayo abasajja amakumi asatu, n'abambulamu ebyambalo amakumi asatu n'abiwa abasse ekikoco; n'addayo ewa kitaawe ng'obusungu bwe bwesera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’aserengeta e Asukulooni n’atta abasajja amakumi asatu, n’abambulamu ebyambalo byabwe, engoye zaabwe n’aziwa abavvuunula ekikokko. N’anyiiga nnyo, n’ayambuka n’addayo ewa kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agenda e Asukulooni, n'attayo abasajja asatu (30), n'abambulamu engoye zaabwe, n'aziwa bali abavvuunula ekikokko. Nasunguwalya nnyo n'addayo ewa kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'aserengeta e Asukelooni, n'attayo abasajja amakumi asatu, n'abambula, engoye zaabwe n'aziwa abasajja abavvuunula ekikokko kye. Obusungu ne bumutikka, n'addayo mu maka ga kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'aserengeta e Asukulooni, n'abattamu abasajja asatu, n'anyaga omunyago gwabwe, n'abawa emiteeko (gy'engoye) abo abavvuunula ekikokko. Obusungu bwe ne bubuubuuka, n'ayambuka eri ennyumba ya kitaawe.