Judges 14:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yadda eka n'abuulira kitaawe ne nnyina nti: “E Timuna nalabyeyo omukazi mu bawala b'Abafilisitiini; kati mumumpasize.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addayo eka, n’ategeeza kitaawe ne nnyina ng’agamba nti, “Nalabye omukazi ku bawala ab’Abafirisuuti mu Timuna. Kale mumumpasize kaakano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'avaayo najja n'abuulira kitaawe ne nnyina nti, “N'alaba mu Timuna omuwala Omufirisuuti; njagala mu mumpasize.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'addayo eka, n'agamba kitaawe ne nnyina nti: “Ndabye omuwala Omufilistiya e Timuna. Kale mumpasize oyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayambuka okuvaayo, n'abuulira kitaawe ne nnyina n'abagamba nti Nalaba mu Timuna omukazi ow'oku bawala ab'Abafirisuuti: kale nno mumpasize oyo.