Judges 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti: “Kyova oyagala okuwasa omukazi mu Bafilisitiini abatali batayirire, mu ŋŋanda zo ne mu ggwanga lyo lyonna temuli mukazi?” Naye Samusoni n'agamba kitaawe nti: “Mumunfunire, kubanga ansanyusa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti, “Tewali mukazi n’omu mu baganda bo newaakubadde mu Bantu bange gw’oyinza kuwasa, olyoke ogende ofune omukazi okuva mu Bafirisuuti abatali bakomole?” Naye Samusooni n’addamu kitaawe nti, “Mpasiza oyo kubanga ye gwe nsiimye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaawe ne nnyina ne bamubuuza nti, “Tewali mukazi n'omu mu bawala ba baganda bo, newakubadde mu bantu bange bonna, naawe kyova ogenda okuwasa omukazi mu Bafirisuuti abatali bakomole?” Samusooni n'agamba kitaawe nti, “Mpasiza oyo kubanga nze ggwe nsimye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kitaawe ne nnyina ne bamubuuza nti: “Lwaki ogenda okuwasa omukazi mu Bafilistiya abatali bakomole? Tewali muwala mu ba kika kyaffe, wadde mu bantu baffe bonna?” Naye Samusooni n'agamba kitaawe nti: “Mpasiza oyo, kubanga gwe nsiimye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kitaawe ne nnyina ne balyoka bamugamba nti Tewali mukazi n'omu mu bawala ba baganda bo, newakubadde mu bantu bange bonna, naawe kyova ogenda okuwasa omukazi ku Bafirisuuti abatali bakomole? Samusooni n'agamba kitaawe nti Mpasiza oyo; kubanga mmusiima nnyo.