Judges 14:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nti ekyo kivudde wa Katonda, ng'anoonya kakisa akole ku Bafilisitiini, kubanga mu budde obwo Abafilisitiini be baali bafuga Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaawe ne nnyina tebaamanya ekyo nga kyava eri Mukama Katonda, kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Mu biro ebyo Abafirisuuti be baafuganga Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kitaawe ne nnyina tebaamanya nga ekyo kyava eri Mukama; kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Era mu biro ebyo Abafirisuuti be baali bafuga Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nga Mukama ye yasindika Samusooni okukola ekyo, kubanga yali anoonya ensonga okulwanyisa Abafilistiya. Mu biro ebyo, Abafilistiya nga be bafuga Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nga kyava eri Mukama; kubanga yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Era mu biro ebyo Abafirisuuti baali bafuga Isiraeri.