Judges 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samusoni n'agenda ne kitaawe ne nnyina e Timuna. Bwe baatuuka ku nnimiro z'emizabbibu ez'e Timuna, omwana gw'empologoma ne gumulumba nga bwe guwuluguma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samusooni ne kitaawe ne nnyina ne bagenda e Timuna. Bwe baali basemberedde ennimiro z’emizabbibu egy’omu Timuna, empologoma ento n’ewuluguma nga bw’emulumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samusooni n'agenda e Timuna, ne kitaawe ne nnyina, bwe batuuka mu nsuku z'emizabbibu ez'e Timuna, era, laba empologoma envubuka n'emulumba nga ewuluguma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samusooni n'aserengeta ne kitaawe ne nnyina e Timuna. Bwe baali bayita mu nnimiro z'emizabbibu, n'awulira empologoma envubuka ng'ewuluguma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samusooni n'alyoka aserengeta e Timuna, ne kitaawe ne nnyina, ne batuuka mu nsuku z'emizabbibu ez'e Timuna: era, laba, empologoma envubuka n'emuwulugumirako.