Judges 14:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'Omukama ne gumujjako, n'abaka empologoma n'engalo ensa, n'agiryebulamu ng'alyebulamu akabuzi akato. Naye kye yakola teyakibuulira ku kitaawe na nnyina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’ayuzaayuza empologoma n’emikono gye ng’ayuzaayuza akabuzi akato, naye n’atabaako ky’ategeeza kitaawe newaakubadde nnyina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agitaagulataagula nga bwe yanditaaguddetaagudde omwana gw'embuzi, so nga yali nga talina kintu mu ngalo ze; naye n'atabuulirako kitaawe newakubadde nnyina kw'ekyo ky'akoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago omwoyo gwa Mukama ne gumuwa amaanyi, n'agitaagulataagula, ng'ataagulataagula embuzi ento, nga talina kintu mu ngalo ze. Kyokka n'atabuulira bazadde be ky'akoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agitaagulataagula nga bwe yanditaaguddetaagudde omwana gw'embuzi, so nga talina kintu mu ngalo ze: naye n'atabuulira kitaawe newakubadde nnyina ky'akoze.