Judges 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ennaku, Samusoni bwe yali addayo okumuwasa, n'akyama, alabe omulambo gw'empologoma. Ekyamuzimuukiriza nga mu mpologoma mulimu enjuki, n'omubisi gwazo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbanga bwe lyayitawo, n’addayo okumuwasa, naye aba ali ku lugendo, n’akyama okulaba omulambo gw’empologoma, era laba, nga mu mulambo gw’empologoma mulimu enjuki n’omubisi gw’enjuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebbanga bwe lyayitaawo n'addayo okumukima, n'akyama okulaba empologoma gye yatta, mu mutulumbi gwayo n'asangamu enjuki n'omubisi gwazo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebbanga bwe lyayitawo, n'addayo okumuleeta. N'akyama okulaba empologoma gye yatta. Mu mulambo gwayo n'asangamu enjuki n'omubisi gwazo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebbanga bwe lyayitaawo n'addayo okumutwala, n'akyama okulaba omulambo gw'empologoma: era, laba, enjuki nga ziri mu mulambo gw'empologoma n'omubisi gw'enjuki.