Judges 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agusokoolamu n'engalo n'agenda ng'alya. Bwe yatuuka eri kitaawe ne nnyina, n'abawaako, nabo ne balya; kyokka teyababuulira nti omubisi agusokodde mu mulambo gwa mpologoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atoola ku mubisi n’engalo ze, n’atambula n’agenda. Bwe yasiŋŋaana kitaawe ne nnyina nabo n’abawaako ne balya, wabula n’atabagamba nti omubisi ogwo gwe balya aguggye mu mulambo gw’empologoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naagutoolako n'engalo ze, n'atambula nga alya, n'agenda eri kitaawe ne nnyina, nabo n'abawaako ne balya, kyokka teyababuulira nti yagujja mu mutulumbi gw'empologoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agutoolako n'engalo ze, n'agulya ng'atambula. N'agenda eri kitaawe ne nnyina, n'abawaako ne balya. Kyokka n'atababuulira ng'omubisi aguggye mu mulambo gw'empologoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agutwala n'engalo ze, n'agenda ng'alya atambula, n'ajjira kitaawe ne nnyina, n'abawaako, ne balya: naye n'atababuulira ng'omubisi aguggye mu mulambo gw'empologoma.