Judges 15:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe waayitawo akabanga, ng'obudde obw'okukungula eŋŋano butuuse, Samusoni n'akyalira mukazi we, n'amuleetera akabuzi. N'agamba nti: “Njagala kugenda wa mukyala wange mu kisenge kye.” Naye kitaawe w'omukazi n'atamuganya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ebbanga bwe lyayitawo, ng’ebiro eby’okukungula eŋŋaano bituuse, Samusooni n’agenda okukyalira mukazi we ng’amutwalidde akabuzi akato. N’ayogera nti, “Nnaagenda eri mukazi wange mu kisenge.” Naye kitaawe w’omukazi n’atamukkiriza kugenda yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ebbanga bwe lyayitawo, mu makungula g'eŋŋaano, Samusooni n'akyalira mukazi we n'amutwalira omwana gw'embuzi; n'agamba kitaawe w'omukazi nti, “Naayingira eri mukazi wange mu nnyumba.” Naye kitaawe wa mukazi we n'atamuganya kuyingira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ebbanga bwe lyayitawo, Samusooni n'agenda okukyalira mukazi we mu makungula g'eŋŋaano, ng'amutwalidde embuzi ento. N'agamba kitaawe w'omukazi nti: “Njagala kuyingira mu kisenge kya mukazi wange.” Kyokka kitaawe w'omukazi n'atamuganya kuyingira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olwatuuka ebbanga bwe lyayitawo, nga bakungula eŋŋaano, Samusooni n'akyalira mukazi we ng'alina omwana gw'embuzi; n'ayogera nti Naayingira eri mukazi wange mu nju. Naye kitaawe n'atamuganya kuyingira.