Judges 15:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu b'omu Yuda ne babuuza nti: “Lwaki muzze okutulumba?” Ne babaanukula nti: “Tuzze kusiba Samusoni, tumukole nga bwe yatukola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Yuda ne bababuuza nti, “Lwaki mutulumbye?” Abafirisuuti ne babaddamu nti, “Tuzze okuwamba Samusooni tumutwale nga musibe, tumwesasuze nga bwe yatukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ba Yuda ne babuuza nti, “Lwaki mutulumbye okutulwanyisa?” Abafirisuuti ne baddamu nti, “Tuzze okusiba Samusooni, twesasuzze by'eyatukola ffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Buyudaaya ne bababuuza nti: “Lwaki mutulumbye?” Ne baddamu nti: “Tuzze okukwata Samusooni tumusibe, twesasuze bye yatukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Yuda ne boogera nti Kiki ekibayambusizza okulwana naffe? Ne boogera nti Twambuse okusiba Samusooni, okumukola nga bwe yatukola ffe.