Judges 15:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja enkumi ssatu okuva mu Yuda ne baserengeta ku mpampagama y'olwazi lw'e Etamu, ne bagamba Samusoni nti: “Tomanyi nti Abafilisitiini be batufuga? Kiki kino ky'otukoze?” Ye n'abagamba nti: “Nabakola nga nze bwe bankola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja enkumi ssatu okuva mu Yuda ne bagenda ku mpuku y’olwazi lw’e Etamu ne bagamba Samusooni nti, “Tewamanya ng’Abafirisuuti be batufuga? Kaakano kiki kino ky’otukoze?” N’abaddamu nti, “Nneesasuzza kye bankola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja enkumi ssatu (3,000), aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti, “Tomanyi nga Abafirisuuti be batufuga? Lwaki watukola bw'otyo?” Samusooni n'agamba nti, “Naali nesasuzza ekyo nabo ky'ebankola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja enkumi ssatu aba Buyudaaya ne bagenda ku mpuku, ku kagulungujjo k'e Etamu ne bagamba Samusooni nti: “Tomanyi ng'Abafilistiya be batufuga? Kale kiki ky'otukoze?” N'abaddamu nti: “Nneesasuza kye bankola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja enkumi ssatu aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti Tomanyi nga Abafirisuuti batufuga? kale kino kiki kye watukola? N'abagamba nti Bo nga bwe bankola, nange bwe nnabakola.