Judges 15:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Tukukakasa tetujja kukutta, wabula tujja kukusiba busibi miguwa tukuweeyo ng'oli mulamu.” Ne bamusibisa emiguwa ebiri emiggya, ne bamuggyayo mu lwazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Tukkiriziganyizza. Tujja kukusiba busibi, tukuweeyo mu mukono gwabwe, naye tetujja kukutta.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya ne bamuggyayo mu mpuku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba nti, “Nedda, mazima tetuukutte, tujja kukusiba busibi tukuweeyo gyebali;” ne bamusibisa emiguwa ebiri emiggya ne bamujjayo mu jjinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Tetujja kukutta, wabula tujja kukusiba busibi, tukuweeyo gye bali.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya, ne bamuggyayo mu mpuku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera naye nga bagamba nti Nedda; naye tunaakusibira ddala, ne tukugabula mu mukono gwabwe: naye mazima tetuukutte. Ne bamusibya emigwa ebiri emiggya, ne bamulinnyisa okuva mu jjinja.