Judges 15:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka mu Leki, Abafilisitiini ne bajja okumusisinkana nga baleekaana. Omwoyo gw'Omukama ne gumujjako, emiguwa egyali gimusibye ne gita ng'egy'obugoogwa obwokeddwa omuliro, n'ebyali bisibye emikono gye ne bita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yali asemberera Leki Abafirisuuti ne bajja gy’ali nga baleekaana. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ng’obugoogwa obwokeddwa omuliro, ne gisumulukuka okuva ku mikono gye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne baleekaanira waggulu ne bamulumba; omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, naakutula emiguwa egyali gimusibye emikono, negiba ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatuuka e Lehi, Abafilistiya ne badduka okujja gy'ali nga baleekaana. Amangwago omwoyo gwa Mukama ne gumuwa amaanyi, n'akutula emiguwa egyali gimusibye emikono, ne giba ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne boogerera waggulu bwe baasisinkana naye: omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'emigwa egyali ku mikono gye ne gifuuka ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro, ebyali bimusibye ne biva ku mikono gye.