Judges 15:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okwogera, akaba n'akakasuka eri; ekifo ekyo ne kiyitibwa Ramati-Leki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamala okwogera ekyo, n’akanyuga oluba n’alusuula, ekifo ekyo n’akituuma Lamasuleki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe yamala okwogera n'asuula wansi oluba lw'endogoyi; ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Lamasuleki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okwogera ebyo, n'asuula wansi oluba lw'endogoyi. Ekifo ekyo ne kiyitibwa Lamati Lehi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yamala okwogera n'asuula oluba okuva mu ngalo ze; ekifo ekyo ne kiyitibwa Lamasuleki: