Judges 15:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyonta n'emuluma nnyo; n'akoowoola Omukama nti: “Ggwe otadde mu mikono gy'omuweereza wo obuwanguzi obw'amaanyi, kati nfe ennyonta, ngwe mu mikono gy'abatali batayirire?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alumwa nnyo ennyonta, n’akabira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Omuddu wo omuwadde obuwanguzi olw’amaanyi; ne kaakano nfe, ngwe mu mukono gw’abatali bakomole?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samusooni n'alumwa nnyo ennyonta, n'akoowoola Mukama nti, “Ompadde obuwanguzi buno obw'amaanyi. Naye ate kaakano nfe ennyonta mpambibwe abatali bakomole?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samusooni n'alumwa nnyo ennyonta, n'akoowoola Mukama nti: “Ompadde obuwanguzi buno obw'amaanyi. Kaakano nfe ennyonta, nkwatibwe abatali bakomole?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennyonta n'emuluma nnyo, n'akaabira Mukama, n’ayogera nti Otuwadde okulokoka kuno okunene n'omukono gw'omuddu wo: ne kaakano ennyonta enenzita, ne ngwa mu mukono gw'abatali bakomole.