Judges 15:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'aggulawo ekinnya mu Leki, amazzi ne gafumbukuka. N'anywa, amaanyi ge ne gadda, n'addamu ensa. Oluzzi olwo kyeruva luyitibwa Eni-Akkore. Lukyaliyo mu Leki n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’akola ekinnya mu Leki, ne muvaamu amazzi, kwe yanywa n’addamu amaanyi, n’aba mulamu. Ekifo ekyo kyeyava akituuma Enkakkole, era kikyaliyo mu Leki n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'azibukula ekinnya ekyali mu Leki, ne muvaamu amazzi, awo Samusooni bwe yamala okunywa n'addamu amaanyi n'obulamu; Oluzzi olwo kyerwava luyitibwa Enkakkole, luli mu Leki ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aggula ekinnya ekiri eyo e Lehi, ne muvaamu amazzi. Samusooni bwe yamala okunywa, n'awulira ng'ali bulungi, n'addamu obulamu. Oluzzi olwo ne lutuumibwa erinnya Enihakkore, oluli e Lehi n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda n'ayasa ekinnya ekiri mu Leki, amazzi ne gavaamu; awo bwe yamala okunywa, omwoyo gwe ne gumuddamu, n'alamuka: kyerwava lutuumibwa erinnya Enkakkole, oluli mu Leki, okutuusa leero.