Judges 15:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Nalowooza nti wamukyawa, kyennava mmuwa mukwano gwo. Naye muto we si y'amusinga obulungi? Gw'oba otwala mu kifo ky'oli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaawe w’omukazi n’agamba Samusooni nti, “Nze nalowooza nti wamukyayira ddala, kyennava mugabira mukwano gwo. Muganda we omuto amusinga okulabika obulungi. Kaakano gw’oba otwala mu kifo ky’oli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaawe wa mukazi we n'amugamba nti, “Nnali ndowooza nti wamukyayira ddala kyennava muwa munno. Muganda we omuto siyamusinga bulungi? Nkwegayiridde twala oyo mu kifo kye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Samusooni nti: “Nze nalowooza nga wamukyayira ddala, ne mmuwa munno. Naye muganda we omuto ye asinga obulungi. Gw'oba otwala mu kifo ky'oli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaawe n'agamba nti Mazima mbadde ndowooza nga wamukyayira ddala; kyennava muwa munno: muganda we omuto tamusinga bulungi? nkwegayiridde, mutwale mu kifo kye.