Judges 15:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Samusoni kwe kugenda, n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'abisiba bibiri bibiri emikira, n'addira emimuli buli gumu n'agusiba wakati w'emikira ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samusooni n’agenda n’akwata ebibe ebikumi bisatu, n’asiba bibiri bibiri emikira, n’akwataganya emikira, n’addira ebitawuliro n’ateeka ekitawuliro wakati w’emikira kinneebirye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samusooni n'agenda n'akwata ebibe bisatu (300), n'abikwataganya emikira bibiri bibiri, n'ateeka ebitawuliro wakati w'emikira gyabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agenda n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'asiba bibiri bibiri emikira, n'ateeka ebitawuliro mu bifundikwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samusooni n'agenda n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'addira ebitawuliro, n'abikwataganya emikira, n'ateeka ekitawuliro wakati w'emikira kinneebirye.