Judges 15:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini bwe baabuuza nti: “Ani akoze kino?” Ne babagamba nti: “Samusoni, mukoddomi w'omusajja w'e Timuna, kubanga omusajja yaddira mukazi we n'amufumbiza mukwano gwe.” Abafilisitiini ne bagenda, ne bookya omukazi ne kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafirisuuti bwe baabuuza akoze bwe kityo, ne boogera nti, “Ye Samusooni mukoddomi w’Omutimuna, kubanga Omutimuna yaddira mukazi wa Samusooni, n’amuwa mukwano gwa Samusooni.” Abafirisuuti ne bagenda ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti ne balyoka babuuza nti, “Akoze kino y'ani?” Ne babagamba nti, “Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yaddira mukazi wa Samusooni n'amuwa munne.” Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafilistiya ne beebuuza nti: “Akoze kino ye ani?” Ne babagamba nti: “Samusooni mukoddomi w'Omutimuna. Kubanga Omutimuna oyo yaddira muka Samusooni, n'amuwa munne wa Samusooni.” Awo Abafilistiya ne bagenda ne bookya omuliro omukazi n'ab'omu maka ga kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti ne balyoka boogera nti Akoze bw'atyo ye ani? Ne boogera nti Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yatwala mukazi we n'amuwa munne. Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe nmuliro.