Judges 15:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abakuba bubi nnyo, n'abattamu bangi. N'aserengeta n'abeeranga mu mpampagama y'olwazi lw'e Etamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abalumba n’atta bangi nnyo ku bo, n’agenda n’abeera mu mpuku ey’omu lwazi lw’e Etamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abalumba, n'abattamu abantu bangi nnyo; n'alyoka aserengeta n'atuula mu lwatika olw'omu jjinja lya Etamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abalumba n'amaanyi mangi, n'abattamu bangi nnyo. N'agenda n'abeera mu mpuku ku kagulungujjo k'olwazi lw'e Etamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abattira ddala nnyo nnyini bangi nnyo: n'aserengeta n'atuula mu lwatika olw'omu jjinja lya Etamu.