Judges 15:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Abafilisitiini ne bambuka, ne basiisira mu nsi ya Yuda, eggye lyabwe ne libuna wonna mu Leki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti ne bayambuka ne basiisira mu Yuda, ne basaasaana okumpi ne Leki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne basiisira mu Yuda, ne bazinda ekibuga Leki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafilistiya ne bajja ne basiisira mu Buyudaaya, ne bazinda ekibuga Lehi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne basiisira mu Yuda, ne bayanjaala mu Leki.