Judges 16:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Delila n'agamba Samusoni nti: “Wayagadde kunguumaaza; oŋŋamba bya bulimba. Naye leero mbuulira kye bateekwa okukusibya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Laba, onduulidde, era onnimbye. Kaakano mbuulira ekiyinza okukusiba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Derira n'agamba Samusooni nti, “Laba, onduulidde, era onnimbye; kaakano nkwegayiridde, mbuulira kyebayinza okukusibya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Delila n'agamba Samusooni nti: “Ndaba ng'ombuzaabuza era onnimba! Kaakano nkwegayiridde, mbuulira ekiyinza okukusiba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Derira n'agamba Samusooni nti Laba, onduulidde, era onnimbye: kaakano nkwegayiridde, mbuulira ekiyinza okukusiba.