Judges 16:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Delila n'agamba Samusoni nti: “N'okutuusa kati okyangumaaza; oŋŋamba bya bulimba. Ntegeeza kye bateekwa okukusibya.” Samusoni n'amwanukula nti: “Singa oddira emivumbo omusanvu egy'enviiri z'oku mutwe gwange n'ogirangamu ebiwuzi, n'ozisibira ku nkondo n'ebikwanso eby'omutunzi, olwo ng'amaanyi ganzigwamu: ndiba ng'abantu abalala bonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulidde era onnimbye. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” N’amugamba nti, “Bw’onooluka emivumbo musanvu egiri ku mutwe gwange, n’engoye, n’obinyweza nzija kunafuwa, mbeere ng’omuntu omulala yenna.” N’aluka emivumbo omusanvu egy’ali ku mutwe gwe, n’engoye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Derira n'agamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulira era onnimba bulimbi; naye ddala mbuulira kyebayinza okukusibya.” N'amugamba nti, “Bw'onoolukira emivumbo egy'oku mutwe gwange omusanvu, ku muti okulukirwa engoye n'oginyweza n'olubambo, olwo ne ndyoka mbeera omunafu nga omusajja omulala yenna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Delila n'agamba Samusooni nti: “Okutuusa kati ombuzaabuza era onnimba bulimbi. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” N'amugamba nti: “Emivumbo omusanvu egy'enviiri zange bw'ogiruka n'engoye ku muti okulukirwa, n'oginyweza n'olubambo, nja kuba munafu, mbe ng'omusajja omulala yenna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Derira n'agamba Samusooni nti Okutuusa kaakano onduulira era onnimba bulimbi: mbuulira ekiyinza okukusiba. N'amugamba nti Bw'onooluka emivumbo egy'oku mutwe gwange omusanvu n'engoye ezirukibwa.