Judges 16:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'amwebasa otulo, emivumbo omusanvu egy'enviiri z'omutwe gwe n'agirangamu ebiwuzi, n'agisiba n'ebikwaso by'omutunzi. N'alekaana nti: “Samusoni, Abafilisitiini bakuliko.” Samusoni n'awawamuka, n'akuula enkondo n'enkwanso eby'omutunzi, ne bijja n'ebiwuzi by'enviiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abinyweza n’olubambo. N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lw’omuti ogulukirwako n’engoye ezirukiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Derira bwe yalaba nga Samusooni yeebase, naddira emivumbo omusanvu egy'oku mutwe gwe n'agirukira ku muti ogulukirwako engoye, n'azisibira ddala n'olubambo; n'alyoka alekana n'amugamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Samusooni n'azuukuka mu tulo n'akwakulayo olubambo n'omuti okulukirwa engoye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Delila n'amwebasa, n'addira emivumbo omusanvu egy'enviiri ze n'agiruka n'engoye, n'azisibira ddala n'olubambo, n'alyoka aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuliko!” Samusooni n'azuukuka mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lw'omuti ogulukirwako n'engoye ezirukiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azisibira ddala n'olubambo n'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'azukuuka mu tulo twe, n'akwakula olubambo lw'omuti ogulukirwako, n'engoye ezirukibwa.