Judges 16:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Delila n'amugamba nti: “Ogambira ki nti: ‘Nkwagala’, sso ng'omutima gwo tegundiiko? Kati emirundi esatu ng'ongumaaza; ogaanyi okumbuulira amaanyi agenkana awo we gakuva.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Derira n’amugamba nti, “Oyinza otya okugamba nti onjagala, ate ng’omutima gwo teguli nange? Gino emirundi esatu onduulidde, n’otontegeeza amaanyi go amangi mwe gasibuka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Derira n'agamba Samusooni nti, “Oyinza otya okwogera nti onjagala ate nga omutima gwo teguli nange? Kubanga waakanduulira emirundi gino esatu, so nga tombuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukazi n'agamba nti: “Oyinza otya okugamba nti onjagala ate nga tonneesiga? Waakambuzaabuza emirundi gino esatu n'otombuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Oyinza otya okwogera nti Nkwagala, omutima gwo nga teguli mange? waakanduulira emirundi gino esatu, so tonnambuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.