Judges 16:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kumubuulira byonna nti: “Akamwano tekayitanga ku mutwe gwange, kubanga ndi munazireewo wa Katonda okuva mu lubuto lwa nnyabo. Singa omutwe gwange gumwebwa, amaanyi nga ganzigwamu, nga mba ng'abantu abalala bonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samusooni n’amubuulira ebyali ku mutima gwe byonna. N’amugamba nti, “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange. Bwe mwebwako enviiri, olwo amaanyi gange gananvaako, ne nnafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samusooni n'alyoka amubuulira byonna ebyali mu mutima gwe, n'amugamba nti, “Ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mange era siimwebwanga nviiri. Bwe mwebwako enviiri amaanyi gange ganvaako ne nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amubuulira byonna, n'amugamba nti: “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi Muwonge eri Katonda okuviira ddala mu lubuto lwa mmange. Bwe mmwebwako enviiri, amaanyi gange ganvaako, ne nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amubuulira byonna (ebyali mu) mutima gwe, n'amugamba nti Akamwano tekayitanga ku mutwe gwange; kubanga ndi Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange: bwe ndiba nga mmwereddwa, amaanyi gange ne galyoka ganvaako, ne nfuuka nmunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.