Judges 16:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Delila bwe yalaba ng'amubuulidde byonna, n'atumira abafuzi b'Abafilisitiini nti: “Mukomeewo, kubanga kati ammaliddeyo byonna.” Ne bajja nga baleese ne ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Derira bwe yalaba ng’amutegeezezza byonna ebyali ku mutima gwe, n’atumira abakulembeze b’Abafirisuuti ng’agamba nti, “Mukomeewo omulundi guno gwokka, kubanga yantegeezezza ebiri mu mutima gwe byonna.” Awo Abafirisuuti ne bakomawo nga baleese ezaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Derira bwe yamanya nga Samusooni amubuulidde byonna ebibadde mu mutima gwe, n'atumya abakungu b'Abafirisuuti ng'ayogera nti, “Mujje omulundi guno gwokka, kubanga ambuulidde byonna ebibadde mu mutima gwe.” Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bagenda gy'ali nga batutte n'effeeza mu ngalo zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Delila bwe yamanya ng'amubuulidde byonna, n'atumira abakungu b'Abafilistiya nti: “Mukomewo omulundi guno gumu gwokka kubanga ambuulidde byonna.” Awo ne bajja gy'ali, nga n'ensimbi bazze nazo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Derira bwe yalaba ng'amubuulidde byonna (ebibadde mu) mutima gwe, n'atuma n'ayita abakungu b'Abafirisuuti ng'ayogera nti Mwambuke omulundi guno gwokka, kubanga ambuulidde byonna (ebibadde mu) mutima gwe. Awo abakungu b'Abafirisuuti ne balyoka bayambuka gy'ali nga baleeta effeeza mu ngalo zaabwe.