Judges 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'e Gaza bwe baababuulira nti: “Samusoni ali wano,” ne beebungulula ekibuga, ne bamwebakirira ekiro kyonna ku mulyango gw'ekibuga. Ekiro kyonna tebaanyeenya, nga bagamba nti: “Tujja kumutta nga mmambya asala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ab’e Gaza ne bategeezebwa nga Samusooni bw’ali mu kifo ekyo. Ne bamuzingiza ne bamuteegera ku wankaaki w’ekibuga ekiro kyonna. Ne basiriikirira ekiro kyonna nga bagamba nti, “Obudde bwe bunaaba nga bunaatera okukya tunaamutta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babuulira ab'e Gaza nti, “Samusooni atuuse wano.” Ne bamuzingiza, ne bamuteegera ku mulyango gw'ekibuga okukeesa obudde, ne basirika ekiro kyonna, ne boogera nti, “Katulinde obudde bukye tulyoke tumutte.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'e Gaaza ne bamanya ng'ali eyo, ne bazinda ekifo ekyo, ne bamuteega ekiro kyonna ku mulyango gw'ekibuga nga bagamba nti: “Obudde ka bukye, tulyoke tumutte.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Ne babuulira) ab'e Gaza nti Samusooni atuuse wano: Ne bamuzingiza, ne bamuteegera mu mulyango gw'ekibuga okukeesa obudde, ne basirika ekiro kyonna, nga boogera nti Obudde bukye tulyoke tumutte.