Judges 16:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Delila n'alekaana nti: “Samusoni, Abafilisitiini bakuliko.” N'awawamuka; yali alowooza nti: “Nzija kudduka nga bwe mbadde nkola, nzija kwesumattula.” Yali tamanyi nti Omukama yali amuvuddeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo ng’agamba nti, “Nzija kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo.” Naye teyamanya nga Mukama Katonda amulese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Derira naalekaana nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Samusooni n'azuukuka mu tulo twe n'alowooza nti anaafuluma ng'obw'edda abeetakkuluzeeko; n'atamanya nga Mukama yali amulese.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukazi n'aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuliko!” N'azuukuka mu tulo, n'alowooza nti: “Nja kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo.” Yali tamanyi nga Mukama amulese!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'azuukuka mu tulo twe n'ayogera nti Naafuluma ng'obw'edda, ne nneekunkumula. Naye yali tamanyi nga Mukama amulese.