Judges 16:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafuzi b'Abafilisitiini ne bakuŋŋaana okutambirira lubaale waabwe Dagoni, ne bakola embaga; ne bagamba nti: “Katonda waffe awadde mu mikono gyaffe Samusoni, omulabe waffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakulembeze b’Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka eri lubaale waabwe Dagoni, nga bwe basanyuka. Ne boogera nti, “Lubaale waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka ennene eri Dagoni katonda waabwe n'okusanyuka; kubanga baayogera nti, “Katonda waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu b'Abafilistiya ne bakuŋŋaana okusanyuka n'okuwaayo ekitambiro ekinene eri lubaale waabwe Dagoni, nga bagamba nti: “Lubaale waffe atuwadde okuwangula Samusooni omulabe waffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka ennene eri Dagoni katonda waabwe n'okusanyuka: kubanga baayogera nti Katonda waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe: