Judges 16:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abantu bwe baamulaba, ne batendereza lubaale waabwe nga baleekaana nti: “Lubaale waffe awaddeyo omulabe waffe mu mikono gyaffe; oyo eyaleka amatongo ensi yaffe, eyaweza omuwendo gw'abafu baffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bwe baalaba Samusooni, ne batendereza lubaale waabwe nga bwe boogera nti, “Lubaale waffe agabudde omulabe waffe mu mukono gwaffe, oyo eyazikiriza ensi yaffe, n’atta bangi ku ffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bwe baamulaba ne batendereza katonda waabwe nti, “Katonda waffe atuwadde okuwangula eyazikiriza ensi yaffe, era eyatuttako abantu abangi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baali basanyuka, ne bagamba nti: “Muyite Samusooni atusanyuseemu!” Bwe baleeta Samusooni, nga bamuggya mu kkomera, n'abasanyusaamu, ne bamuyimiriza wakati w'empagi. Abantu bwe baamulaba ne batendereza lubaale waabwe nti: “Lubaale waffe atuwadde okuwangula eyazikiriza ensi yaffe, era eyatuttako abangi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bwe baamulaba ne batendereza katonda waabwe: kubanga baayogera nti Katonda waffe agabudde omulabe waffe mu mukono gwaffe, era omuzikiriza w'ensi y'ewaffe, eyatuttako abangi.