Judges 16:25 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baacamuka, ne bagamba nti: “Muyite Samusoni atuzannyiremu.” Ne bayita Samusoni mu kkomera n'abazannyiramu. Baali bamuyimirizza wakati w'empagi bbiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baasanyuka ennyo, ne bawowoggana nga bwe bagamba nti, “Mutuyitire Samusooni atusanyuseemu.” Ne baleeta Samusooni abasanyuseemu, nga bamuggya mu kkomera. Ne bamuyimiriza wakati w’empagi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka emitima gyabwe bwe gyajjula essanyu, ne bagamba nti, “Muyite Samusooni atusanyusemu.” Awo ne bayita Samusooni okuva mukkomera n'abasanyusamu ng'ali mu maaso gaabwe nga bamutadde wakati w'empagi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka emitima gyabwe bwe gyali gisanyuse, ne boogera nti Muyite Samusooni atunyumizeeko. Ne bayita Samusooni okumuggya mu nnyumba ey'ekkomera: n'abanyumizaako (ng'ali) mu maaso gaabwe: ne bamuteeka wakati w'empagi: