Judges 16:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samusoni n'akwata empagi zombi ez'omu makkati ennyumba kwe yali enyweredde, ne yeenyweza kuli, emu n'agissaako ogwa ddyo endala ogwa kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samusooni n’akwata empagi zombi ezaali wakati mu ssabo we yali ayimiridde, n’azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku mpagi emu, n’omukono ogwa kkono nga guli ku ndala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati ezaawanirira ennyumba, n'azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku emu, n'ogwa kkono nga guli ku ndala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati, eziwaniridde ekizimbe, n'azimalirako amaanyi gonna, omukono gwe ogwa ddyo ku emu, n'ogwa kkono ku ndala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati ezaawanirira enju, n'azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku emu, n'ogwa kkono nga guli ku ndala: