Judges 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Samusoni yeebaka kutuusa nga mu ttumbi. Bwe yazuukuka mu ttumbi, n'akwata enzigi zombi eza wankaaki w'ekibuga n'emyango gyombi n'abiwangulamu ko n'omuyingo, n'abissa ku kibegabega, n'abitwala ku ntikko y'olusozi olutunuulidde Keburoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n’agolokoka mu ttumbi, n’akwata enzigi ebbiri eza wankaaki w’ekibuga, n’emifuubeeto gyombi, n’abisimbula okuva mu bifo byabyo, n’agyawo n’ekisiba, n’abiteeka ku bibegaabega bye n’abitwala ku ntikko y’olusozi olutunuulidde Kebbulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n'agolokoka mu ttumbi, n'akwata enzigi z'omuzigo gw'ekibuga, n'emyango gyombi, n'abisimbulira ddala byonna era n'ekisiba, n'abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso g'e Kebbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Samusooni ne yeebaka okutuuka mu ttumbi. N'agolokoka n'akwata oluggi lw'emiryango gy'ekibuga, n'alusimbulamu n'emyango gyalwo gyombi n'ebisiba, n'abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso ga Heburooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n'agolokoka mu ttumbi, n'akwata enzigi z'omuzigo gw'ekibuga, n'emifuubeeto gyombi, n'abisimbulira ddala byonna era n'ekisiba, n’abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso g'e Kebbulooni.