Judges 16:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna ne baserengeta, ne bamuggyayo, ne bamuleeta ne bamuziika wakati wa Zora ne Esutawoli, mu ntaana ya kitaawe Manowa. Yali alamulidde Yisirayeli emyaka amakumi abiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo baganda be n’ennyumba yonna eya kitaawe ne bagenda ne baggyayo omulambo gwe, ne bagutwala ewaabwe, ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe Manowa eyali wakati w’e Zola ne Esutaoli. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe ne batwala omulambo gwe, ne baguziika wakati wa Zola ne Esutaoli ku kiggya kya Manowa kitaawe. Samusooni yalamulira Isiraeri emyaka abiri (20).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo baganda be n'ab'ennyumba ya kitaawe bonna ne bajja okutwala omulambo gwe. Ne bamutwala ne bamuziika wakati w'e Zora ne Esutawoli, ku biggya bya kitaawe Manowa. Yali akulembedde Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe ne baserengeta ne bamutwala, ne bamwambusa, ne bamuziika wakati w’e Zola ne Esutaoli mu kifo eky'okuziikangamu ekya Manowa kitaawe. Era yalamulira Isiraeri emyaka abiri.