Judges 16:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Delila n'agamba Samusoni nti: “Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi agenkana awo we gakuva, n'engeri oli gy'asobola okukusibamu n'akugonza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Kaakano mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era n’ekiyinza okukusiba okukujeeza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Derira n'agamba Samusooni nti, “Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era kyebayinza okukusibya okukujeeza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Delila n'agamba Samusooni nti: “Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, n'ekiyinza okukusiba n'oba nga tokyeyinza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Derira n'agamba Samusooni nti Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era ekiyinza okukusiba okukujeeza.