Judges 16:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samusoni n'amwanukula nti: “Bwe bansibisa enkoba musanvu empya, ez'eddiba eritannakala, ng'amaanyi ganzigwamu, nga mbeera ng'abantu abalala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samusooni n’amugamba nti, “Bwe bansiba enkolokolo embisi musanvu, ezitakaze, olwo nnaanafuwa ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samusooni n'amugamba nti, “Bwe balinsibya enkolokolo musanvu ezitakolangako eziwotose, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samusooni n'agamba nti: “Bwe bansibya enkolokolo empya omusanvu ezitakaze, nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samusooni n'amugamba nti Bwe balinsibya enkolokolo embisi omusanvu ezitakaze, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala.