Judges 16:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo baali beekwese mu kisenge mw'asula. N'aleekaana nti: “Samusoni, Abafilisitiini bakuliko.” Samusoni n'akutula enkoba kyenkana nga wuzi bw'ekutuka ng'omuliro gugikombyeko. Amaanyi we gamuva ne watamanyika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo abasajja abaali beekwese mu kisenge omwo omukazi mwe yali. Awo omukazi n’akoowoola Samusooni ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’akutula enkolokolo, ng’omuntu bwe yandikutudde omuguwa oguyise mu muliro. Bwe kityo ensibuko y’amaanyi ge n’etazuulibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omukazi yalina abateezi abaali mu kisenge ekirala. N'amugamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko!” Nagugumuka naakutula enkolokolo ng'omuguwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gwokeddwa omuliro. Amaanyi ge ne gatategeerekeka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi era yalinawo abasajja abateeze mu kisenge ekirala. N'aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuguddeko!” Samusooni n'akutula enkolokolo ng'omuguwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gukutte omuliro. Awo amaanyi ge ne gatategeerekeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omukazi yalina abateezi abaabeera mu nju ey'omunda: N'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'akutula enkolokolo, ng'omugwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gutuuse ku muliro: Awo amaanyi ge ne gatategeereka: