Judges 17:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mika n'amugamba nti: “Sigala nange obeere kitange era kabona wange; buli mwaka nzija kukuwanga sekeli za ffeeza kkumi, n'ebyambalo, n'ebyokulya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mikka n’amugamba nti, “Beera nange, obeere kitange era kabona, nange ndikuwa ebitundu bya ffeeza kkumi ng’empeera, era ne nkuwa n’engoye n’emmere.” Omuleevi n’abeera naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mikka n'amugamba nti, “Beera nange obeere nga kitange era kabona wange. Nnaakuwanga ebitundu kkumi ebya ffeeza buli mwaka, n'eby'okwambala omuteeko gumu n'eby'okulya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mikka n'amugamba nti: “Beera nange, obeere omubuulirizi era kabona wange. Nnaakuwanga ebitundu kkumi ebya ffeeza omwaka, n'ebyokwambala n'ebyokulya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mikka n'amugamba nti Beera nange, obeere gye ndi kitange era kabona, nange naakuwanga ebitundu ebya ffeeza kkumi buli mwaka, n'ebyokwambala omuteeko gumu, n'ebyokulya. Awo Omuleevi n'ayingira.