Judges 17:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mika n'agamba nti: “Omukama anampisa bulungi, Omuleevi amaze n'afuuka kabona wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mikka n’ayogera nti, “Kaakano mmanyi nga Mukama Katonda anankoleranga ebirungi, kubanga nnina Omuleevi nga kabona wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mikka n'ayogera nti, “Kaakano nga bwe nnina Omuleevi nga ye kabona wange, mmanyi nga Mukama ajja ku nkolera ebirungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mikka n'agamba nti: “Kaakano nga bwe nnina Omuleevi nga ye kabona wange, mmanyi nga Mukama ajja kunkolera ebirungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mikka n'alyoka ayogera nti Kaakano mmanyi nga Mukama anankolanga bulungi, kubanga nnina Omuleevi okuba kabona wange.