Judges 17:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu yagamba nnyina nti: “Sekeli za ffeeza olukumi mu ekikumi ezaakuggyibwako, olumu ne mpulira ng'okolima olw'okubeera zo, nze nazitwala era nzirina kaakati.” Nnyina n'amwanukula nti: “Mwana wange, Katonda akuwe omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi ebyakubulako, n’okukolima n’okolima, nga mpulira, laba, effeeza eyo nze njirina. Nze nagitwala.” Awo nnyina n’amugamba nti, “Mwana wange, Mukama Katonda akuwe omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi (1,100), bye baakutwalako n'okolima nga mpulira, nze n'abitwala era mbirina.” Nnyina n'ayogera nti, “Omwana wange aweebwe omukisa Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nnyina nti: “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi bye baakutwalako n'okolima nga mpulira, nze nabitwala era mbirina.” Nnyina n'agamba nti: “Mukama akuwe omukisa, mwana wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nnyina nti Ebitundu ebya ffeeza lukumi mu kikumi ebyakuggibwako, ebyakukolimya ekikolimo n'okwogera n'okyogera mu matu gange, laba, ffeeza eri nange; nze nagitwala: Nnyina n'ayogera nti Omwana wange aweebwe omukisa Mukama: