Judges 17:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aziddiza nnyina; nnyina n'agamba nti: “Ffeeza wange nali ndayidde okumusingira Omukama, mutabani wange n'amunzigya mu ngalo zange amukolemu ekifaananyi kya lubaale ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse. Kale nno kati mmukuwadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yakomyawo ebitundu bya ffeeza ebyo olukumi mu ekikumi, eri nnyina, nnyina n’amugamba nti, “Mpaayo effeeza eno eri Mukama Katonda, okuva mu mukono gwange ku lw’omwana wange, ekolebwemu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse, era ndimuzza gy’oli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja n'addiza nnyina ebitundu biri ebya ffeeza olukumi mu ekikumi (1,100). Nnyina n'agamba nti, “Okuggya ekikolimo ku mwana wange, mponga eri Mukama ffeeza eno, ekolebwemu ekifaananyi ekyole ekibikiddwako ffeeza ensanuuse, kale kaakano ffeeza ngikuddiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'azza ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi eri nnyina. Nnyina n'agamba nti: “Okuggya ekikolimo ku mwana wange, mponga eri Mukama ffeeza ono, akolebwemu ekifaananyi ekyole ekibikkiddwako ffeeza omusaanuuse. Kale kaakano ffeeza mmukuddiza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azza ebitundu biri ebya ffeeza lukumi mu kikumi eri nnyina, nnyina n'ayogera nti Mazima njawula ffeeza eno eri Mukama okuva mu mukono gwange olw'omwana wange, okukola ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse: kale kaakano naagizza eri ggwe.