Judges 17:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mika n'addiza nnyina sekeli za ffeeza lukumi mu kikumi; nnyina n'atoolako sekeli ebikumi bibiri, n'azitwalira omufukusi wa zaabu, n'akolamu ekifaananyi kya lubaale ekyole n'ekifaananyi kya lubaale ekisaanuuse. Ne babiteeka mu nnyumba ya Mika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yazza effeeza, nnyina n’addira ebitundu ebikumi bibiri ebya ffeeza, n’abiwa omuweesi wa ffeeza, n’abikolamu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse. Ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mikka bwe yazza ebitundu bya ffeeza eri nnyina, nnyina n'atoolako ebitundu bibiri (200), n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'akola ekifaananyi ekyole, n'akibikkako ffeeza, ekifaananyi ekyo ne kiteekebwa mu nnyumba ya Mikka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mikka bwe yazza ebitundu bya ffeeza eri nnyina, nnyina n'atoolako ebitundu ebikumi bibiri, n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'akola ekifaananyi ekyole, n'akibikkako ffeeza, ekifaananyi ekyo ne kiteekebwa mu nnyumba ya Mikka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yazza ebintu eri nnyina, nnyina n'atwala ebitundu ebya ffeeza ebikumi bibiri, n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'abikoza ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse: ne kibeera mu nnyumba ya Mikka.