Judges 17:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja ono Mika yalina essabo; yakola efodi ne bulubaale obw'awaka, omu ku batabani be n'amufuula kabona we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja oyo Mikka yalina essabo. N’akola efodi, n’ebifaananyi ebyole n’ayawula omu ku batabani be okuba kabona we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja oyo Mikka yalina essabo lye, n'atunga ekkanzu ey'obwakabona, ne baterafi, n'ayawula omu ku batabani be n'amufuula kabona we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja oyo Mikka, yalina essinzizo lye. N'akola ebifaananyi eby'okusinza. N'ayawula omu ku batabani be, n'afuuka kabona we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja oyo Mikka yalina ennyumba ya bakatonda, n'atunga ekkanzu, ne baterafi, n'ayawula omu ku batabani be, oyo n'afuuka kabona we.