Judges 17:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo mu Yisirayeli temwali kabaka, wabula buli omu kye yatwalanga okuba ekituufu nga ky'akola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bw’alaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri nga buli muntu akola nga bw'alaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, tewaali kabaka mu Yisirayeli. Buli muntu yakolanga nga bw'alaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: buli muntu yakolanga ekyabanga mu maaso ge ye ekirungi.